Amos 7:7-9

7Ate Mukama n’andaga okwolesebwa okulala. Ne ndaba Mukama ng’ayimiridde ku bbugwe azimbiddwa obulungi nga yatereera era nga Mukama akutte bbirigi mu mukono gwe. 8 aMukama n’ambuuza nti, “Amosi, kiki ky’olaba?”

Ne nziramu nti, “Ndaba bbirigi.”

Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Laba nteese bbirigi wakati mu bantu bange Isirayiri. Sijja kuddayo kukyusa kirowoozo kyange nate ku ky’okubabonereza.

9 b“Ebifo ebigulumivu ebya Isaaka birizikirizibwa,
n’ebifo bya Isirayiri ebitukuvu birifuuka matongo.
N’ennyumba ya Yerobowaamu ndigirwanyisa n’ekitala.”
Copyright information for LugEEEE